Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 262 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Taata avumbise omwana we mu muliro lwa kuba na nvunza

April 6, 2017 · Mubiru Ali

Taata avumbise omwana we owe myaka 6 mu muliro nga amulanga kubeera nanvunza.

Bino bibadde ku kyalo Kisojo, mu muluka gw’ e Kalonga mu gombolola ye Kitenga e Mubende.

Nzeyimana Ben  ow’emyaka 37  y’avumbise mutabani we Muwanguzi Allan ow’emyaka 6 mu Kyoto oluvanyuma lw’o kumusanga n’envunza mu bigere n’oluvannyuma nafumba namazzi agookya n’amutuuzaamu.

Kamukama Robinah ono nga y’akulira essomero lya Mirembe Agape Primary school omwana ono gyasomera mu kibiina ekisooka ategeezezza nti agenze okulaba nga omwana ono atambula abeteggera bwatyo kwekumukebera ebigere byasanze nga bijjudde amabwa era nga ono tasobola na kutuula olwe biwundu ebiri ne kukabina.

Kino kiggye mu mbeera abatuuze mu kitundu nebatuuka n’okwagala okugajambula omutuuze ono nga police yo mukyenda yeemutaasizza.