Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 486 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Sylvia talabiseeko mu Kkooti

October 7, 2020 · Mubiru Ali

Ssentebe w’Akakiiko ka Equal Opportunities Commission Uganda Sylvia Ntambi olunaku olwaleero talabiseeko mu Kkooti nga akiikiriddwa Munnamateeka we Mac Dusman Kabega ategeezezza nti omuntu we mulwadde.
Kabega ategeezezza Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi e Kololo nti Ntambi yagenda mu ddwaliro nga 1-10-2020 ku Medik Hospital.
Kabega ategeezezza Omulamuzi Pamela Ochaya Lamunu nti yaleese empapula z’eddwaliro mu Kkooti era nasaba eyongezeeyo ekibaluwa ki bakuntumye. Kkooti ekirizza neragira Ntambi alabikeko nga 29-10-2020 wabula bbo bavunaanibwa nabo bbo balabiseeko mu kkooti nebasomerwa emisango 3 okuli okwekobaana, okufiiriza Gavumenti ensimbi wamu n’obuli bw’enguzi.
Ntambi yateebwa ku kakalu ka Poliisi mu August 2019.