Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Supreme Mufti Ndirangwa avumiridde ekya Police okukuba abantu emiggo

July 18, 2016 · Mubiru Ali

Supreme Mufti Sheikh Suleman Kasule Ndirangwa avumiridde ekya Police okukozesa eryanyi erisukkiridde eri bannansi.

Kino kiddiridde obutambi obwafulumira ku mikutu gy’amawulire ne Yintaneeti nga Police eweweenyula abantu emigoba nte bwebaali ku makubo nga baaniriza Dr. Kizza Besigye nga ateereddwa okuva ku kkomera e Luzira gy’abadde okuva ku ntandikwa y’omwezi gwokutaano.

Ndirangwa okwogera bino abadde ku mukolo gw’okujjukira amadda g’omulangira Nuhu Mbogo okuva e Zanzibar gyeyali mu buwanganguse ogwabadde mu maka ga Jajja wobuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge.

Ku mukolo gwegumu Omulangira Kassim Nakibinge agamba nti obubenje obusukiridde mu ggwanga buva ku bavuzi ba bidduka abalagajjavu.

Wabula akubirizza abasiraamu okulabira ku Mulangira Nuhu Mbogo okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe.