Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 339 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Steven Mugambwa gwebamenyera ennyumba e Nakaseke afudde

June 12, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Omwami Steven Mugambwa omutuuze ku kyalo Kimegeredde e Ssemuto yafudde olunaku lw’eggulo. Ono ye mwami eyalabikirako mu katambi nga alumiriza eyaliko RDC w’e Wakiso Mw. Sula Sserunjogi okumukoonera ennyumba ye wamu n’okusanyaawo olusuku lwe nga amugoba ku ttaka kwawangalidde ebbanga.
Oluvannyuma lw’omukaba w’ekitundu kino Hon. Luttamaguzi Ssemakula, omubaka owa Nakaseke Central Hon. Ssebunnya Allan Mayanja – Mp okuyingira mu nsonga zino wamu ne Bannabyabufuzi abalala okwali n’Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka Minisita Mayanja yalagira ono okudda ku ttaka lye era nalagira Uganda Police Force etandike okunoonyereza ekwate nabo abaali emabega wokukoona ennyumba ye.
Wabula kigambibwa nti ono oluvannyuma lwokuddizibwa ku ttaka ate waliwo abamulumba mu kiro nebamukuba naddusibwa mu ddwaliro gyebamuweera ekitanda.