Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 391 listening Simba FM Live

Stella Nyanzi akwatiddwa

June 12, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi akutte Stella Nyanzi olw’okuziba ekubo eriyingira ku kitebe kya Poliisi e Naguru gyabadde agenze okusisinkana IGP Martins Okoth Ochola. Nyanzi agamba nti abadde agenze ku kitebe kino olw’okuba yakiriziddwa D/IGP Sabiiti Muzeyi.

RPC Kampala Metropolitan East Michael Sabila Musani akuliddemu okukwata Stella Nyanzi agamba nti kati akumirwa ku Poliisi ya Jinja Road.

Abasirikale ababadde bakuuma ku mulyango bamugaanye okuyingira nebamutegeeza D/IGP Sabiiti abadde taliiwo ekimujje mu mbeera nga agamba lwaki ayonoona obudde bwe nga akimanyi nti taliiwo.