BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Stecia avudde mu Golden Band

Ssemakula avuddeyo nawandiika ku kya Stecia okuva mu Golden;

 

Bingi bibadde bitambuzibwa ku mikutu gya Social Media ku Hajjat Stecia Mayanja mukozi munange ate nfa muwala wange kuba nkoze kinene nnyo okumulaba nga afuuka ekyenjawulo. Omuntu omulungi asobola okuva mu kibiina wadde kirungi. Sijja kugamba nti byonna byetukola mu Golden Band bisanyusa muwala wange Stecia kuba okuva mu buto ffenna twalina engeri gyetwalabangamu ebintu, nga tulina ebigendererwa eby’enjawulo mubulamu.

Nkoze ne Stecia emyaka egisoba mu 10 naye wadde nga kiruma okumulaba nga agenda nina okukiririza mu kusalawo kkwe. Wadde nga tekikirizika muyozayoza byakoze mu Golden band.

Ffenna tulina ebyokukola naye bwosalawo okuva mu Golden olina okusooka okulowooza ennyo era nga kino nkiwa ekitiibwa era nenkusabira emikisa sijja kwogera bingi nga Ssemakula, oyanirizibwa okunebuuzaako, n’emiryango gya Goldne Band nzigule era bw’osalawo okudda osobola okudda.

Eri abawagizi baffe mwenna, nkimanyi temuli basanyufu era nga muweddemu amaanyi era muli banyiivu, naye mbasaba olw’okwewa ekitiibwa, obumu n’okukuuma emirembe twewale entalo n’okwerumba. Wadde nga tulina endowooza ez’enjawulo tuleke Social Media ereme kubeera kkooti wetusalirawo wabula nsaba ebeere ekifo ekiraga obumu n’okwagala.

Nabwekityo nsaba abawagizi wamu n’emikwano gyaffe, ba sponsor n’emikutu gy’empuliziganya okwaniriza okusalawo kwe n’okwagala era mumuwagire kuba ekiseera kino sikyangu gyali. Kyetulina okukola kuyambagana ffenna tugende mu maaso wadde nga ebeera eyinza okubeera nga emalamu amaanyi.

Nsaba tuzikize omuliro eri muwala wange Stecia

Nkwagaliza birungi byereere Hajjat Faridah Stecia Mayanja

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply