Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 477 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Stanbic etonodde amalwaliro e Nakaseke ebikozesebwa mu bujanjabi

October 23, 2024 · Mubiru Ali
Bannabulemeezi balabuddwa okukomya okumala gagulaagula ddagala buli webasanze ate nebabasaba okugendanga mu malwaliro ga Gavumenti bakeberebwe olwo balyoke bafune eddagala ettuufu erisobola okukola ku bulwadde obubeera buzuuliddwa.
Okulabula kuno kukoleddwa Minisita wa Kampala omubeezi Kabuye Kyofatogabye bwabadde akwasa abakulira Eddwaliro lya Butalangu Health Centre III ne Wakyato Health Centre III nga gano gasangibwa mu Disitulikiti yโ€™e Nakaseke ebintu ebibaweereddwa bbanka ya Stanbic okubadde; maama kit, enkampa, Fridge etereka eddagala, ebyuuma ebipima pressure, sukaali, minzani, ebyuuma ebikebera amaaso nebirala nga bino bibalirirwamu obukadde 25 mu emitwalo 30.
Okusinziira ku bakungu okuva mu Stanbic Bank, enkola eno bagituumye Corporate Social Investment era yakubumbugira ddala okutuusa omwezi gwe kkumi lwe gunaggwako mu nkola gyebayita “Love October Initiative”.
Bya Lwanga Musa e Luweero
#ffemmwemmweffe