Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 402 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ssentebe w’ekyalo afiiridde mu ssabo – Mubende

March 6, 2018 · Mubiru Ali

Waliwo ssentebe w'ekyalo ekimu ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Mubende afiriidde mu ssabo ew'omusawo wekinnansi gyabadde atwalidwa okujjanjabibwa oluvannyuma lw'okulwalira akaseera.
Afudde ye  Anania Mulindwa atemera mu gy'obukulu 56 nga y'abadde Ssentebe wa LC esooka ku kyalo Kayunga mu ggombolola y'e Myanzi muDisitulikti y'e Mubende.

Ono okufa kigambibwa nti aliko olumbe olubadde lumubala embiriizi nabwegutyo n'asalawo okugenda ew’omusawo wekinnansi  Asumani  Kazibwe  ob'olyawo asobole okumuwonya wabula ate n'afiirayo bufiizi.
Omwogezi wa Police mu kitundu kya Wamala  Nobert Ochomu
akakasizza okufa kwa Ssentebe w'ekyalo ono kyokka n'amba nti bakuttte
nannyini ssabo  abayambeko mu kunoonyereza ate ggwo omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaliro lya Kiganda Health Venter
IV.