Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,061 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ssentebe wa EOC avunaaniddwa

September 22, 2020 · Mubiru Ali
Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi etuula e Kololo olunaku olwaleero evunaanye Ssentebe w’Akakiiko ka Equal Opportunities Commission Uganda (EOC), Sylvia Muwebwa Ntambi omusango gwobukenuzi n’obuli bw’enguzi.
Mu June 2019 ekitongole kya Uganda Police Force ekinoonyereza ku misango ekya Criminal Investigations Directorate (CID) kyatandika okunoonyere ku Sylvia Ntambi ku bigambibwa nti yabulankanya ensimbi z’ekitongole, era DPP Jane Frances Abodo nassa omukono ku misango gino. Kigambibwa nti wakati wa July 2018 ne April 2019 ku offiisi z’ekibiina ezisangibwa mu Kampala, Ntambi yasuulirira omulimu gwe ogw’okulondoola entambuza y’emirimu gy’ekitongole ekyaviirako okukwata obubi ensimbi.