Ssentebe wa Disitulikiti y’e Hoima ateereddwa ku kakalu ka Kkooti

Omulamuzi omukulu owa Kkooti e Hoima ayimbudde Ssentebe wa Disitulikiti y’e Hoima owa LC5 Kadir Kirungi ku kakalu ka Kkooti kumisango omuli okwekobaana okuzza omusango.
Kigambibwa nti Kirungi n’olukiiko lwe bapangisa ebyuuma bya Disitulikiti ebikola enguudo eri omulimu omuyindi mu Disitulikiti y’e Kiryandongo.
Ab’olukiiko lwa Disitulikiti abakwatiddwa ne Ssentebe kukiko; Jackson Mulindambura, Secretary for Production, Benson Chiche District vice-chairman councilor Buhanika sub-county ne Geoffrey Komakech – Secretary for Finance councilor Buseruka sub-county.
Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi James Opio nebavunaanibwa emisango okuli; okujingirira ebiwandiiko, okugaba ebiwandiiko ebijingirire wamu n’okwekobaana okuzza omusango.
Bano bakudda mu Kkooti nga 13-Ocotber-2021.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply