Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 362 listening Simba FM Live

Ssentebe wa Disituliki y’e Kwania ali mukattu lwakukozesa bubi motoka ya Gavumenti

July 15, 2020 · Mubiru Ali
Ssentebe wa LC 5 owa Disitulikiti y’e Kwania, Basil Okello Onach ali mubuzibu olw’okukozesa obubi emotoka ya Gavumenti.
Obuzibu bwatandika ku mande oluvannyuma lw’emotoka ya Ssentebe Toyota Double Cabin nnamba UG 3456R bweyakwatiddwa mu Aduku Town Council nga etisse ebinyeebwa nga ebijja mu nnimiro ya Ssentebe.
Okusinziira ku Uganda Police Force ebinyeebwa yabadde ebitwala mu maka ga Ssentebe nga era okukwatibwa Poliisi yasoose kutemezebwako batuuze.
David Komakech, nga ye DISO yebazizza nnyo Abasirikale abakutte emotoka eno nategeeza nti Ddereeva w’emotoka eno Emmanuel Odongo omutuuze wa Aduku Town Council yakwasiddwa Poliisi emotoka netwalibwa ku Kwania Central Police Station.
Ye Ssentebe Onach yakirizza nti yasimba ebinyebwa mu nnimiro ye okuliraana offiisi ye nga abaana be bwebadde bakuula ebinyeebwa nga ddereeva waali namusaba abitwale ewuwe.