Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 854 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ssente zetufuna okukola enguudo tekuli zaakuliyirira bantu – SsentebeMatia Lwanga

December 27, 2016 · Mubiru Ali

Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika agamba nti Disitulikiti teggya kuliyirira muntu yenna naddala nga ettaka lye lirina engeri gyelyasengebwako mu kiseera ekyokuzimba n’okukola enguudo mu bitundu eby’enjawulo ebya Disitulikiti eno. 

Kino kiddiridde abantu abawerako gamba ng’abali mu bitundu by’e Kyebando, Nansana, Bujuuko n’awalala nga bano baddira ettaka lyabwe ate abantu abamu nebagenda okulyewangamyako mu biseera ate okukola omulimu guno wegutandikidde.

Mukwogerezeganyaamu naffe, Bwanika agamba nti ku busente obutono bwebafuna okukola enguudo zino tekuliiko zaakuliyirira bantu.

Wabula Bwanika awadde amagezi nti abantu abamu  abamala geewaanngamya bwebatyo , enkola eno eyinza obutakkirizika mu nkola yenguudo era agamba nti enguudo eziwerako zigenda kukolebwa n’omwaka ogujja .