Ssente za mask zetwabawa ziriwa? – Elijah Okupa
Omubaka akiikirira Kasilo County Elijah Okupa avuddeyo nasaba Gavumenti ne Ministry of Health- Uganda okuvaayo bukubirire bannyonyole ssente obuwumbi 89 obwabaweebwa okugula mask gyezalaga. Okupa agamba nti yabadde e Kasilo abantu nebamutegeeza nga bwebatazirabangako.
Sipiika Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga alagidde Minisita Jane Ruth Aceng okugenda mu Palamenti annyonyole.

