Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 320 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Ssente twazoononera mu kunoonya abawagizi ba NUP abagambibwa okubuzibwawo abataliiyo – Wangadya

January 8, 2024 · Mubiru Ali
Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya avuddeyo nategeeza nti ezimu ku nsimbi ezaweebwa Akakiiko bazikozesa okunoonya abawagizi ba National Unity Platform abagambibwa okubuzibwawo so nga tekyali kituufu.
Wangadya, asabye Palamenti ebongere obuwumbi 3.756 zibayambe ku kwongera ku misaala gyabakozi wamu n’ensako nategeeza nti bafuna emitwalo 60 buli mwezi nga zino z’amafuta ekitegeeza nti bamuwa emitwalo 2 buli lunaku okugula amafuta agamutambuza.