Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 182 listening Simba FM Live

Ssenabulya eyatta Nagiriinya ne Ddereeva we asibiddwa emyaka 40

February 22, 2023 · Mubiru Ali
Isaac Ssenabulya aka Kisunsu 20, olunaku olwaleero aweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 oluvannyuma lwokusingibwa omusango gwokutta Abantu 2 okuli Social Worker Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa.
Wabula Ssenabulya wakusibwa emyaka 37 oluvannyuma lwomulamuzi okusalako emyaka 3 gyamaze ku alimanda okuva mu 2019 bweyakwatibwa. Omulamuzi agamba nti olwokuba Ssenabulya gwemulundi gwe ogusoose okuzza omusango ate nga yakiriza omusango natayonoona budde wamu n’ensimbi za Kkooti era neyenenya olwekyo kyeyakola kyavudde amusiba emyaka 40.
Wabula Omulamuzi ategeezezza Kkooti ategeezezza nti ekikolwa Ssanbulya kyeyakola ekyokutta bantu 2 abatalina musango kyasanyalaza eggwanga lyonna nti era kyalaga nti yali tassa kitiibwa mu bulamu. Ayongeddeko nti ekifaananyi kyeyalekera ab’Oluganda nakyo kibi nnyo. Omulamuzi agamba nti Ssenabulya musajja mulamu alina amaanyi agasobola okukola okweyimirizaawo okusinga okuzza emisango okubaawo. Ono amusalidde ekibonerezo kyamyaka 40 ku buli musango ogumuvunaaniddwa era nga giri emisango 6 wabula nga ebinonerezo bino wakubikolera wamu.