Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 37 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omubaka Ssemuju emivuyo egyabadde mu kuwenja akalulu ka Kyaddondo East agitadde ku Kakiiko ka byakulonda

June 29, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti akiikirira Munisipaali y’e Kira mu Disitulikiti y’e Wakiso,    Ibrahim Ssemuju Nganda agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kaakunenyezebwa nnyo olw’emivuyo egyetobese mu kampeyini ezaabadde zifundikirwa akawungeezi ka ggyo mu kalulu ka Kyaddondo ey’obuvanjuba nga okulonda kuno kwakubaayo nkya.

Ssemuju agamba nti vvulugu yenna eyeetobese mu nkungaana ez’abeesimbyewo ekyaleetedde Pulezidenti Museveni okugenda ng’ataataaganya enkungaana ezitali zimu nga abeesimbyewo ebifo ebimu mwebaabadde balina okukuba enkungaana nga basangawo magye n’ebitongole ebikuuma ddembe ebitali bimu ekyalese ebibuuzo.

Ayongerako nti ekya Pulezidenti Museveni okugenda mu bifo nga bino ate n’atwalayo amagye agaleetera abantu okwewanika emitima nga yeerabidde nti yabadde awenjezabuwenjeza munnakibiina kalulu .