Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 969 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Ssemuju awakanya eky’okuwa ababaka ssente okwebuuza ku balonzi ku ky’ekkomo ly’emyaka

October 5, 2017 · Mubiru Ali

Nampala w’ababaka mu Palamenti ab’oludda oluwabula Gavumenti, Ibrahim Ssemuju Nganda agamba nti awakanya ne ssekuwakanya yenna ekyokuwa ababaka ssente okugenda mu bitundu gyebakiikirira okwebuuza ku bantu ku ky’ebbago lyetteeka eriggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ssemuju okuwakanya kino kizze oluvannyuma lwa Nampala w’ababaka mu Palamenti aba NRM, Ruth Nankabirwa okutegeeza nti Palamenti egenda kuwa ababaka ssente bagende batandike okukuba enkungaana nga beebuuza ku balonzi mu bitundu byebakiikirira ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga .

Agamba nti ababaka baweebwa ssente z’okukyalira ebitundu byebakiikirira emirundu ebiri mu mwezi, sso basaanye okukozesa akakisa kano okwebuuza ku bantu .