Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 345 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

ssemaka yetugidde mu sitoowa yawaka lwamabanja

March 9, 2019 · Mubiru Ali

George William Ssebuggwawo nga abadde ayokya weredingi mu kabuga k’omu Nnyendo e Masaka yetugidde mu sitoowa ye nga kigambibwa nti amabanja gabadde gamuyinze.

Abawaka okuli Nabuuma nga ono ye Mukyala muto agamba nti Ssebuggwawo yabula ku lwakusatu nalekawo essimu ye. Bano bamaze n’omulabo mu sitoowa enaku ssatu nga tebamanyi.

Nabuuma agamba nti ekiro mu ttumbi yalumiddwa ebisa n’ayambibwako baliraanwa okumuzaalisa omwana ow’okubiri mu Ssebuggwawo. Wabula bwe bukedde, omukozi n’aggulawo Sitoowa okuggyayo enkumbi amaaso gaggukidde ku mulambo gwa nnyinimu.

Oluvannyuma abadduukirize bayise poliisi ne babbomola ekituli mu sitoowa mwe bayisizza omulambo ne gutwalibwa okwekebejjebwa abasawo. Mukyala mukulu Jane Namirembe azze n’abaana babiri bamulekedde.