Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 624 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Ssemaka yeetuze lwakutulugunyizibwa mukyala we

June 21, 2017 · Mubiru Ali

Waliwo omusajja mu Disitulikiti y’e Mayuge eyeggye mu bulamu bwensi eno nga alaga obutali bumativu ย bwe nga entabwe eva ku mukyala we okumutulugunyanga entakera.

Anthony Oketch nga wa myaka 45 y’asangiddwa nga omulambo gwe ggulengejjera ku muti gw’omuyembe nga yeeyimbyemu ogwakabugu era nga alese abaana munaana.

Ssentebe w’eggombolola y’e Musubi Hamuza Isabirye akakasizza bino wabula n’awa abafumbo amagezi okwewalanga obutabanguko mu maka nti bwekiba kigaanye beeyunire abantu ababasingako naye nga tebatwalidde mateeka mu ngalo.