Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 224 listening Simba FM Live

Ssemaka owa 50 asse mukyala we lwa kumumma kaboozi

April 27, 2016 · Mubiru Ali

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Konde  – Naluwondwa mu Gombolola ye Madudu e Mubende , Ssemaka owemyaka 50 bwakkakkanye ku mukyala we gwalinamu abaana 8 n’amukuba emiggo egimututte e kalannamo lwakumumma mukwano .

Byamukama Faustine myaka 50 yakkidde mukaziwe Mukamulingo Mangadalena ag’alina emyaka 45 naamukuba emiggo egimumizizza omusu mu kiro ekikeesezza leero nga okusinziira ku muwala waabwe omukulu Uwizera Annet ategeezezza nga bwebabadde beebase kwekuwulira nga maama waabwe akaaba bwebazuukuse kwekusanga kitaabwe nga akuba nnyabwe emiggo kyokka nga beebase tewali buzibu bwonna , bbo kwekukuba enduulu abatuuze nebadduukirira basanze maama waabwe amaze okufa .

Ssentebe w’ekyalo kino  Ssaalongo Kyamanywa John ategeezezza nga bwebakutte musajja mukulu ono nebamukwasa Police ye Kaweeri .

Abatuuze mu kitundu kino bavumiridde nnyo ekikolwa ekikoleddwa nakukadde ono kyebagambye nti kivudde ku butakkaanya mu maka nga kyandibanga bwavudde ku mukwano kuba abafumbo bano babadde bakolagana .