Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 206 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Ssemaka atirimbudde mukyala we, omwana ne nazzaala – Lyantonde

April 4, 2017 · Mubiru Ali

Waliwo ssemaka mu Disitulukiti y’e Lyantonde atirimbudde abantu basatu omuli mukyala we, omwana  wamu ne nazzaala we era emirambo n’agisibira mu nju n’amalamu omusulo.

Enjega eno egudde ku kyalo Mitukula ekisangibwa mu muluka gw’e Kagara mu Ggombolola y’e Kanshagara mu disitulikiti y’e Lyantonde nga omusajja Ngendaimaana Innocent ow’emyaka 60 yasse mukyala we Naitasha Kanyanduke, omwana Nzirimaana Alifunsi wamu ne omukadde omuzaalira omukyala etegeerekeseeko erya Oliva.

Ssentebe w’ekyalo kino Mitukula, Yusuf Kadere ategeezezza Luboggola Simba nti enjega eno okumanyika yazuuliddwa omutuuze Jackson  Byamukama eyalinnye waggulu n’aseruukulula enju oluvannyuma lw’okumala ennaku ttaano nga abantu bano tebakubikako kimunye era oluvannyuma lwa kino eriiso yalikubye ku mirambo .

Wabula kiteeberezebwa nti bano (Abagenzi) Ngendaimaana yabakubye kakumbi ku mitwe oluvannyuma lw’okusanga ebiwundu ku mitwe gyabwe. Police eggyeewo emirambo n’egitwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Lyantonde nga bwekola okunoonyereza.