BREAKING NEWS
Observer: Uganda, Burundi proudly represented through Australia at World Cup Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Ssemaka akaabidde ku Police lwa mwana

Ssemaka  akaabidde ku Police e Mukono oluvannyuma lw'eyali mukazi we okukamutema nga omwana gwe yamulekera nga wa myaka ebiri nti ssi yekitaawe n'asalawo okumugabira omusajja omulala gwe baayagalana naye nga bakyali mu ssomero.

Ibrahim Musisi nga mutunzi wa ngatto mu kibuga Mukono era nga mutuuze ku kyalo Butebe y'akabidde amaziga ku poliisi e Mukono oluvanyuma lwa eyali Mukazi we Patricia Birungi okumutegeeza nti omwana waabwe Leticia Kinconco myaka 11 gwe yamusuulira nga muto nga bwatali kitaawe bw'atyo n'asalawo okumuwa eyali muganzi we nga bakyasoma Fred Kisitu nti ye kitaawe.

Musisi ategeezezza nga omukazi ono bweyamusuulira omwana ono nga wa myaka ebiri bw'atyo n'asalawo okugenda okufumbirwa ewalala era nga y'abadde atoba n’omwana ono era nga kino kyamuwaliriza n’okwesonyiwa eby'abakazi n'asalawo okukuza omwana we.

Ono agenze mu maaso n'ategeeza nti nga 20 Ntenvu w'omwaka oguwedde, Birungi n'anona omwana ono okugenda okulya ssekukkulu n'amutegeeza nga bweyali agenda okumukomyawo mu bwangu wabula bweyalabye tamukomyawo kwe kumukubira essimu era  wano weyakamutemedde nti omwana ssi wuwe nga yabadde amuwaddeyo ewa kitaawe.

 

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply