Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,844 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ssemaka afunyisizza muwala olubuto yeewadde obutwa

August 8, 2017 · Mubiru Ali

Ssemaka yeewadde obutwa n’akkirira ezzirakumwa oluvannyuma lw’okuganza kawala ke ak’emyaka 16 n’akafunyisa olubuto wamu n’okukasiiga obulwadde bw’ekiryatabaala .

Lubowa Isma nga abadde atemera mu gy’obukulu 43  omutuuze ku kyalo Mbikko ekisangibwna mu Munisipaali y’e Njeru mu Disitulikiti y’e Buyikwe, okwewa obutwa kiddiridde muwala we okutemya ku nnyina wamu n’abatuuze nga kitaawe bweyamufunyisizza olubuto era bino olugudde mu matu ga bano, ssemaka n’atya okutwalibwa mu mbuzi ekogga era n’asalawo yeewe emmimbiri.

Bo abatuuzze balumiriza ssemaka ono kati omugenzi okuba nga kawala ke abadde yakafuula mukazi we era wetukoledde eggulire lino nga omulambo gwa ssemaka gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejjebwa.