Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 237 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ssemaka ab’awaka bamulemesezza okutunda ku ttaka ne yeetuga

July 4, 2017 · Mubiru Ali

Omusajja mu Disitulikiti y’e Mpigi yeeyimbemu ogwa Kabugu oluvannyuma lwa Mukyalawe n’abaana okumulemesa okutunda ku ttaka okuli amaka gaabwe asobole okusasula mulirwana abadde amubanja. 

Omusasi waffe mu Disitulikiti y’e Mpigi, Aloysius Ssengendo yaatutegeezezza nti David Kasozi ow’emyaka 65 omutuuze ku kyalo Buwanda ekisangibwa mu ggombolola y’e Buwama yeeyeggye mu bulamu bwensi eno nga gyebuvuddeko yali yaguza mulirwana we ettaka eryazuulibwa oluvannyuma nti lyali lya kitongole ekivunaanyizibwa ku by’ebibira mu ggwanga ekya (National Forestry Authority) era nekiryeddiza.

Nabwekityo mulirwana wa Kasozi gweyaguza ettaka liri abadde amubeeba entakera amuddize zzente nga era  kigambibwa nti Kasozi kati omugenzi abadde agezaako okunnyonnyola ab’amaka ge batundeko ku ttaka basasule ebbanja naye ng’akootakoota mu ga lumonde.