Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 274 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Ssekikubo avuddeyo ku kya Gavumenti okutondawo Minisitule z’ebitundu

June 18, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka Theodore Ssekikubo akiikirira Lemiyaga mu lukiiko olukulu olw’eggwanga agamba nti okutandika okuteekawo zi Minisitule ez’enjawulo ezikwata ku gatundutundu agatali gamu neziteekebwa mu yafeesi ya Sssaabaminisita, kaba ng’akabonero akalaga nti Gavumenti eremeddwa mu nteekateeka y’ebitongole mweyinza okuyita okukulembera abantu obulungi. 

Ssekikubo yayogereganyizzaamu n’omusasi wa Luboggola Simba,  n’abaako by’amufuuwa ku bino :

“Kano ke kamu ku bubonero obulaga nti Gavumenti enteekateeka zaayo zirimu ebituli,  bwoba olina Gavumenti eya wakati ate ng’olina ne Gavumenti ez’ebitundu kaakati ate awo mu mmakati kiki ekiba kitondesaawo Minisitule ez’ekimpatiira ezitalina mulimu gwa nkalakkalira oba omwesimbu gwezigenda okukola,  naye bino bya bufuzi Pulezidenti Museveni aba azannyiramu byabufuzi “.