Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 100 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ssekikubo atabukidde Gavumenti ku Bannamawulire abakwatibwa

February 15, 2018 · Mubiru Ali

Akawungeezi ka leero Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zoomunda mu ggwanga eteereddwa ku nninga Ababaka mu Palamenti ennyonnyole  wa bannamawulire babiri okuli Charles Otukuli omukozi w'olupapula lwa New Vision ne Rev. Isaac Bakka eyali omukozi wa UBC.

Etukuli yakwatiddwa ku lunaku Lwakubiri wali mu Industrial Area okuliraana olupapula lwa New Vision nga ate ye Rev. Bakka yakwatibwa mu mwezi gwa Mukulukusabitungo omwaka oguwedde nga negyebuli kati tamanyiddwa gyali.

Ensonga zino zireeteddwa mu Palamenti omubaka akiikirira ekitundu eky'e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo era nga ono abadde mwennyamivu olw'engeri bannamawulire bano gyebakwatibwamu.

Ssekikubo ayanjizza ekiteeso kino ng'ayagala Gavumenti ennyonnyole,  abantu bano nsonga ki ebakwasa era lwaki bakwatibwa mu ngeri ey'enkukutu.

Wabula ye omumyuka wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zoomunda mu ggwanga,  Obiga Kania n'agamba nti ye abadde tamanyi ku bikwata ku kukwatibwa kwa bantu bano.