Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 521 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Ssekikubo asobodde okukungaanya emikono 145 mu wiiki 3

June 10, 2024 · Mubiru Ali

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lwa wiiki 3 nga batongozza ekiteeso kyokuggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo akakawumbi 1 mu obukadde 700 basobodde okukungaanya emikono okuva mu babaka 145 nga bakyalemereddwa okuweza emikono 177.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire Ssekikubo yewuunyizza lwaki Ababaka bangi batidde okuteeka omukono ku kiwandiiko wakati mu mbeera nga Palamenti eri mu kattu nga waliwo nabayitiddwa ku kitebe ky’abambega babitebye.
Ssekikubo asabye ba Kkamisona bano 4 okujja nabo bateeke emikono ku kiwandiiko kino okusobola okulaga ensi nti tebalina musango nga bwebagamba nti tebagulina kuba guno gwe mukisa oguliwo.