Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 224 listening Simba FM Live

Ssekikubo agugumbudde akakiiko k’e byokulonda ku bumyuka bwa Sipiika.

April 28, 2016 · Mubiru Ali

Omubaka akiikirira Lwemiyaga Theodore Ssekikubo agugumbudde akakiiko ka NRM a k’ebyokulonda lwakuggalirayo kusaba kwe okuvuganya ku kifo ky’obumyuka bwomukubiriza wa Palamenti eyekkumi.

Okusinziira ku nteekateeka za NRM ku  kusunsulamu abanaavuganya ku kifo kino, abo bokka ababaka abaakakasibwa akakiiko ke byokulonda nti baawangula ekiteeka Ssekikubo mu katu kubanga abadde agenderera okuvuganya mu kamyufu ka NRM ku ani anaamyuka Omukubiriza wa Palamenti ya Yuganda.

Ssekikubo agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kakikola kigenderere okulwisaawo okumussa mu kitabo ekitongole omugenda ababaka bonna abalondeddwa okutaataaganya ebigendererwa bye okufuuka omumyuka wa Sipiika so nga ate ababaka abalala abasoba mu 80 obuwanguzi bwabwe  bukyemulugunyizibwako naye amannya gaabwe gaagenda dda mu kitabo ekitongole .

Mukwongerako Ssekikubo alayira nti emivuyo gyonna gikolebwe naye ateekwa okuvuganya ku kifo kino nga 05 omwezi gwokutaano .