Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 242 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

SSEGIRIINYA NE SSEWANYANA BEBATEGEKA ENKIIKO ZOKUTEMA ABANTU – CP ENANGA

September 6, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza mu Lukiiko lwa Bannamawulire olunaku olwaleero nga ababaka ba National Unity Platform – NUP okuli Muhammad Ssegiriinya aka Mr. Updates wamu ne Allan Ssewanyana bwebalumirizibwa abamu ku bakwate nti bategeka ettemu eribadde e Masaka nga enkiiko bazituuza nga mu Ndeeba mu Kampala.
Enanga agamba nti abamu ku bakwate balumiriza Ababaka bano nti babasuubiza okubawa ebyobugagga nti era kyekyabayisizza bannyonyole.
Enanga agamba nti abakwate babategeeza nti Bannabyabufuzi bano bebategeka olukiiko, nebabawandiika nti era baagala babannyonyole.
Enanga era agambye nti bano bategeka okutta abantu bateeke obukyayi obw’amaanyi n’okutya mu Bannayuganda.
Enanga agamba nti Poliisi era etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo ebibaluwa bikiro kitwala omunaku ebisuulibwa mu bitundu ebyenjawulo okuli Mityana ne Wakiso nga bitiisatiisa Bassentebe ba LC1, ba Ssentebe ba National Resistance Movement – NRM wamu n’abasuubuzi abamaanyi mu bitundu ebyo.