Ssebuufu ne banne basingisiddwa omusango ogw’obutemu

#SimbaNewsUpdates;
Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Flavia Anglin Ssennonga asingisizza omusuubuzi w’emotoka ku Pine Muhammad Ssebuufu omusango gw’obutemu. Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi luleese obujulizi obumala okuluma Ssebuufu nebanne abalala 7 nti bakigenderera okuwamba omusuubuzi w’omu Kampala Betty Donah Katushabe okuva mu maka ge e Bwebajja, okumubbako essimu wamu n’okumutulugunya okutuuka okuffa olw’ebbanja lya bukadde 9 ezaali zisigaddeyo ku motoka gyebamuguza.
Kkooti ebasingisizza omusango gw’obutemu, okuwamba wamu n’obubbi. Kkooti mubunnambiro esazizaamu okweyimirirwa kwabavunaanibwa era omulamuzi nalagira bazzibweyo ku alimanda e Luzira nga bwebalindirira okufuna ebibonerezo byabwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Stecia Mayanja yegasse ku Kream Production