Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Ssabakristu agoba abatuuze ku ttaka

July 5, 2018 · Mubiru Ali

Ssabakristu w’ekigo ky’oku ssaza e Masaka amaaso gamumyukidde mu lukiiko lw’ekyalo olutudde ku kyalo Kirumba B mu ggombolola y’e Katwe – Butego ng’abatuuze bamulumiriza okubagobaganya ku bibanja byabwe bye bagamba nti tabirinako kakwate.

Abatuuze bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Rose Ssanyu Nabukeera balumiriza Ddibya okukozesa olukujjukujju n’ekigendererwa ky’okubagobaganya ku bibanja byabwe bye beegulira ku ssente zaabwe.
Bano era balumiriza poliisi okutiitiibyanga Ddibya nga buli lwe batwalayo ensonga zaabwe tezikolebwako ekiviiriddeko Ddibya okubaliisa akakanja buli lukya.

Olukiiko luno lubadde lukubirizibwa omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti e Masaka, Joseph Ssekasamba, alagidde poliisi okusooka okulinda okussa ebiragiro bya kkooti mu nkola okutuusa nga waliwo ebimaze okugonjoolwa ku nsonga eno.