Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 258 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Ssaabawolereza wa Gavumenti wetondere Bannayuganda – Ababaka

November 15, 2022 · Mubiru Ali

Ababaka okuli owa Bukonzo West, Atkins Katusabe n’owa Bbaale, Hon. Tebandeke Charles batadde Ssaabawolereza wa Gavumenti, Kiryowa Kiwanuka ku nninga yeetondere Eggwanga olw’okulimba ensi yonna nga Yuganda bwetaliimu kiwambabantu wadde ebifo ebitulugunyizibwamu ebimanyiddwa nga ‘Safe House’ bweyabadde alabiseeko eri akakiiko k’ekitongole ky’ensi yonna ekya UN akakola ku ddembe ly’obuntu. Bano bagamba nti ebigambo bya Kiwanuka ku kudaala kwennyini kuba bangi negyebuli eno tebamanyiseeko mayitire.