Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 269 listening Simba FM Live

Ssaabawolereza ayagala ogwa Sejusa gugobwe

May 6, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabawolereza wa Gavumenti asabye kkooti enkulu mu Kampala egobe omusango gwa Sejusa mwasinziirira okusaba aliyirirwe akawumbi olwokulinnyirira eddembe lye kubanga yakuteekayo kikeerezi .

Omuwaabi wa Gavumenti George Kalemeera agambye omulamuzi awulira omusango guno Margret Oguli nti Sejusa yalina okuteekayo okusaaba kwe mu kooti mu nnaku  90 ezessalira nga  olukiiko olusuumusa amadaala lulemeddwa okusalawo oba akkirizibwa okunnyuka emirimu gy’amagye g’eggwanga oba nedda .

Kalemeera ayongerako nti yali nsobi nnene Sejusa okussaayo okusaba kuno nga wayiseewo emyezi mukaaga nga talina na lukusa olumukkiriza okusaayo okusaba  kuno ekikeerezi  .

N’olwekyo wano Kalemeera waasinziira okusaba omulamuzi Oguli agobe omusango gwa Sejusa .