Ssaabawandiisi w’ekibiina ekitaba abasomesa mu ggwanga afuumuddwa mu yafeesi

Ssaabawandiisi w'ekibiiba ekitaba abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National Teacher's Union (UNATU), James Tweheyo afuumuddwa mu yafeesi y'obwa Ssaabawandiisi olw'embeera ezitategeerekeka ezaaviirako bbanka okuteeka envumbo ku akawunta z'ekibiina kino.

Gyebuvuddeko ku ntandikwa ye ssabbiiti ewedde , Tweheyo yayogerako mu lukungaana lwa bannamawulire ng'ayinyira yafeesi eno mu kisanja ekirala eky'obwa ssaabawandiisi w'ekibiina kino era yeerayirira okutandikira weyakoma nga essira aliteeka mu kukuuma ekibiina ky'abasomesa eky'obwegassi mwebayita okutereka ensimbi zaabwe  (SACCO) ate n'okufuba okulaba nga abasomesa bongezebwa emisaala.

Wabula ate olwaleero, Tweheyo ng'asinziira ki kitebe ky'ekibiina ku Teacher's House mu Kampala, ategeezezza ab'amawulire nti awaddeyo yafeesi oluvannyuma lw'olukiiko olukulembeze okugaana okuzza obuggya kkontulakita ye era nebamugamba ayamuke yafeesi !!

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply