ssaabawandiisi wa custodian board afunye akabenje

George William Bizibu, Executive Secretary, wa Departed Asian Property Custodian Board asimattuse okufiira mu kabenje k’emotoka ku luguudo lw’e Kibaale-Kakumiro mu Disitulikiti y’e Kibaale. Bizibu kigambibwa yabadde yevuga mu motoka ekika kya Land cruiser nnamba UBA 136P eyagudde neyevulungula emirundi egiwera.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Albertine Julius Hakiza agamba nti akabenje kaguddewo ekiro ekikeesezza olwaleero era naddusibwa mu ddwaliro ly’e Kakumiro Health Centre IV oluvannyuma yakimiddwa naleetebwa mu Kampala.

Hakiza agamba nti akabenje kandiba nga kavudde kukuvuga motoka nga atamidde kuba basanze eccupa z’omwenge eziwerako mu motoka ate nga nabamulabyeko nga tanasimbula bagamba nti yabadde atamidde ebitagambika.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Babiri bafiiridde mu kinnya mu kirombe kya zzaabu e Mubende