Ssaabawaabi wa Gavumenti yeetaga obuwumbi 5 okuyimirizaawo abakozi abaggya

Yafeesi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti yeetaga obuwumbi bw’ensimbi  za Yuganda butaano okuyimirizaawo abakozi abaggya.

Micheal Chibita bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’amateeka ategeezezza nti newankubadde nga enteekateeka y’okwongera ku bakozi mu kitongole kino yayisibwa, naye tewali ssente zaateekeddwawo kulabika nti abakozi bano bayingizibwa mu kitongole era nga mu kiseera kino ku Disitulikiti 130 eziri mu ggwanga, bakolera mu 89 zokka ekikaluubiridde bannansi okufuna obwenkanya mu misango.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Omusango gwa Bank of Uganda ne Sudhir gwongezeddwayo