Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 433 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ssaabawaabi wa Gavumenti ogwa Baguma aguggyemu enta

January 10, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita aggye enta mu misango gy'obutemu, Obubbi n'okubuzaawo omuntu egibadde givunaanibwa Aaron Baguma eyali aduumira Police ya Kampala  – CPS . 

Ekiwandiiko ekiraga nti Ssaabawaabi omisango agiggyemu enta kireeteddwa omuwolereza wa Gavumenti Alex Ojok mu maaso g'omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Flavia Ssenoga wabula ebbaluwa teraga nsonga yonna lwaki Ssaabawaabi wa Gavumenti omusango aguggyyemu enta okuggyako alaze  nti etteeka limuwa omwagaanya okukola ekyo.  

Olwaleero Baguma ne banne omuli omusuubuzi w'emmotoka mu Kampala owa Pine, Ssebuufu babadde balina okubaako kyebaanukula ku kubuzaawo n'okutemula omukyala omusuubuzi mu Kampala Donah Betty Katushabe  eyattibwa mu Mukulukusabitungotungo wa 2015 olw'okulemererwa okusasula obukadde mwenda ezaali zimubanjibwa ku mmotoka gyeyagula ku Pine .

Wabula ab'oluganda lwa Katushabe ekya Ssaabawaabi kibakubye wala era nebalayira okweyongerayo n'omusango guno okutuusa nga baliyiriddwa.