Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 283 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Ssaabawaabi wa Gavumenti ayise omusango gwa MP Namujju

August 19, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Kibita ayise omusango gw’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Lwengo , Cissy Namuju ogumuvunaanibwa olw’okujingirira empapula z’obuyigirize . 

Mu kiseera kino omusango guno guwulirwa omulamuzi wa Kkooti ento e Masaka , Aisha Nabukeera era nga okuva lwegwatandika okuwulirwa abajulizi basatu be baakeesowolayo okulumiriza Namuju mwemuli Baker Byayi nga ono mutuuze mu Disitulikiti y’e Lwengo era yeeyatwala ensonga zino ku Police .

Byayi agamba nti ebiwandiiko bya ssiniya eyookuna n’eyoomukaaga Namuju byeyawaayo okusunsulwamu yajingirira bijingirire kubanga yawanduka mu ssomero nga tamalirizza S .4 ne S. 6 .

Wabula ku bbalaza ya ssabbiiti eno obujulizi mu musango guno lwebwali bulina okuggwayo naye nga fayiro zaagwo teziriiwo .

N’olwekyo Omuwolereza wa Gavumenti omukulu e Masaka , David Bakibinga  agamba nti fayilo esindikiddwa e Kampala Ssaabawaabi wa Gavumenti agitunulemu .