Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 367 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ssaabawaabi wa Gavumenti alagidde Police eyongere obujulizi obuluma Bakaleke

April 25, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti alagidde Police eyongere okukungaanya obujulizi obumala okuluma Omupoliisi Siraje Bakaleke eyali omuduumizi wa Police ma maserengeta ga Kampala ne Puliida woomu Kampala, Paul Wanyoto. 

Ababiri bano ne b’Ofiisa ba Police abalala bana bavunaanibwa og’okukwata bannansi b’eggwanga lya Korea – Park Seunghoon ne Jang Shingu Un mu bukyamu , okubanyakulako ensimbi eziri mu kawumbi kalamba n’obukadde bina wamu n’okugezaako okubazzaaayo mu ggwanga lyabwe mu bukyamu

Aba Korea bano baakwatibwa mu mwezi gwa Mukutukansanja omwaka guno bwebaali balindirira okwetaba mu lukiiko olwali lutegekeddwa Wanyoto . Police yasindika Fayilo y’abano eri ssaabawaabi wa Gavumenti agiyitemu olwo abavunaanibwa balyoke balyoke basimbibwe mu maaso ga kkooti.