Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,255 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ssaabawaabi wa Gavumenti aggye enta mu musango gwa Bishop Kibuuka

December 8, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita aggye enta mu misango egibadde givunaanibwa eyaakalya obwa Bishop mu Evangelical Orthodox – Jacinto Kibuuka.

Bishop Kibuuka abadde yaggulwako emisango gy'okweyisa mu ngeri etyoboola eddiini y' Obukatoliki.

Bw'abadde akiikiridde Ssaabawaabi wa Gavumenti mu kkooti ya Buganda road enkya ya leero,  SP Mark Odongo aleese ebbaluwa ya Ssaabawaabi eggya enta mu musango guno , mu bbaluwa akakasizza omulamuzi wa Kkooti ento ku Buganda road Charles Yeteise nga bw'atalina  kiruubirira kyonna mu kuvunaana Bishop Kibuuka era n'asaba kkooti egugobe 

Wabula Chibita tawadde nsonga yonna yassimba lwaki aggya enta mu musango guno.