Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 310 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Ssaabasumba Kizito Lwanga akalaatidde Gavumenti ku by’okwerinda bya bannansi

March 29, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga ate era nga ye ssentebe w’olukiiko olutaba abakulembeze b’enzikiriza asabye Gavumenti essira eriteeke nnyo ku by’etaago bya bannansi okusingira ddala eby’okwerinda naddala mu kiseera kino nga twolekedde ebiseera by’ennaku enkulu ez’amazuukira ga Mukama waffe Yesu Krisitu .

Dr. Lwanga onokoddeyo ebikolwa ebyokuwamba abantu wamu n’okubatta ebikudde ejjembe mu ggwanga mu bibuga ne mu byalo n’agamba nti bino bisusse ogw’obulamuzi.

Ayongeddeko nti Gavumenti esaanidde okuteekamu buli kyetaagisa okusobola okunyweza ebyokwerinda by’eggwanga ate okusingira ddala ku bitongole ebikola okunooyereza ku buzzi bw’emisango ate n’abo abakwatiddwa baleetebwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Ssaabasumba era alaajanidde ebitongole ebigabi by’obuyambi okutuuka ku bantu abakoseddwa olw’enkyukakyuka y’embeera y’obudde ssaako n’obusandali obutali bumu ebirese abasinga ettayo nga tebalina webeegeka na luba, kyokka era Ssaabasumba asabye Gavumenti eggyo n’agomubuto okulwanyisa ekibba ttaka ekirese ekitadde Bannayuganda mu nyiike ey’ekitalo .

Dr. Lwanga bino abituuseeko ng’asinziira mu yafeesi ye e Lubaga ku Lutikko.