Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 208 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
Sports

Ssaabasajja Kabaka yasiimye naggulawo empaka z’omupiira ez’ebika by’Abaganda

May 12, 2019 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka yasiimye naggulawo empaka z’omupiira ez’ebika by’Abaganda ku ssomero lya St. Joseph Of Nazareth e Kavule Katende. Ekika ky’Omutima n’omusu bebagguddewo mu mupiira ogwanyumidde nnamungi w’omuntu eyazze okubugiriza Omutanda.

Eddakiika 90 zagenze okuggwako nga balemaganye 1-1.
Mu kakodyo k’okusimula peneti, Omutima gwakubye 9 ate Omusu 10.
Obuwanguzi buno bwayongeddeyo Omusu ku mutendera oguddako ate ggwo Omutima gwawanduse.

Omupiira gwetabiddwako; Abataka Abakulu b’obusolya, omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu ne tekinologiya Owek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwagga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka, Abagenyi ab’enjawulo okuva mu Gavumenti ya Kabaka, Gavumenti eya wakati, Bannabyabufuzi, n’abakungu abawerako.