Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 654 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ssaabasajja Kabaka yalambudde obutaka bw’ebika

June 11, 2019 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yalambudde obutaka bw’ebika okuli; Ennyonyi Endiisa e Mukungwe, Namungoona e Kasaka, n’e Kinyomo e Kyasa mu Gombolola ye Kyanamukaaka.
ย 
Mu bubaka obw’enjawulo Beene bweyasibiridde abantube, Kabaka yalaze obukulu bwa Bajjajja Abataka nagamba nti Abataka Abakulu b’obusolya gwemusingi gw’Obuganda, ssi basamize. Abo abagezaako okukkirizisa abantu nti basamize , ensonga baba tebazitegedde bulungi. Abataka ba kitiibwa, bebakuuma ennono nobulombolombo bwaffe, era njagala abaana abato bave ku mukolo guno nga bategekedde nti Abakulu b’ebika bebantu bebalina okussaamu ekitiibwa.
ย 
Omutanda yasanyukidde eky’abaana abato abazze mu bungi okumwaniriza naategeeza nti abaana abato bwebabeerawo ku mukolo bavaawo bebuuza amakulu g’emikolo nga gino era mudda baliba bajjukira amakulu gaajo.