🗳️ Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya.
Omutanda alambudde Kalidinaali okumukulisa emyaka 100 (gy’anaweza nga 15 December, 2026). Nnyinimu yeebazizza Omutonzi olw’obulamu bw’awadde Omutiibwa, ekimusobozesezza okuweereza Klezia, Obuganda ne Uganda.
Wangaala nnyo Sseggwanga!
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

