Ssaabasajja Kabaka ayolekera Bugerere ku byobulamu

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii asuubirwa okuggulawo olusiisira lw’ebyobulamu mu ssaaza lye ery’ e Bugerere ku nkomerero y’omwezi guno.

Omutanda asuubirwa okuba mu ssaza lino okuva nga ennaku z’omwezi 21 -23 omwezi guno ogwa Muzigo era nga mu nnaku zino mw’agenda n’okuggulirawo olusiisira lw’ebyobulamu.

Omubaka mu Palamenti owa Ntenjeru ey’amambuka, Amos Lugoloobi alondeddwa okuba Ssentebe w’enteekateeka eno akunze Bannabugerere bonna okusitukiramu nga eyatega ogw’ekyayi okwetegekera okwaniriza Omuteregga mu bungi, okuzimba ebiyitirirwa ate n’okujja bajjanjabwe endwadde ez’enjawulo ezibakuluusanya.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Eyasangibwa ng’akalirira Enkima akaligiddwa emyaka 3