Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,018 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ssaabasajja Kabaka asiimye omuyizi eyataasa banne omuliro gw’e Buddo

August 14, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye omwana omuwala Yvonne Namaganda eyafiira ku myaka mwenda ng’ataasa bayizi banne mu muliro ogwakwata essomero lya Buddo omwafiira abayizi mwenda,  amuwadde ekitiibwa ky’amafumu n’engabo .

Okumuwa ekitiibwa kino,  Ssaabasajja Kabaka asinzidde mu Bulange e Mengo ng’aggulawo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25 era nga awamu asiimye abantu musanvu n’ekitiibwa kino omubadde Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Omugenzi John Ssebaana Kizito,  Omugenzi James Mulwana n’abalala basatu.

Mu Lukiiko lwelumu mubaddemu okweyanza obukulu eri Ssaabasajja Kabaka okuva mu bantu ab’enjawulo era nga Olukiiko luno lwetabiddwamu Omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi,  Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, nankulu wa Kampala Jennipher Musisi Ssemakula,  Meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssemuggwawo,  abataka abakulu ab’obusolya,  ab’amasaza n’abalala nkumu ab’ebitiibwa.