Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 114 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Buganda

October 5, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku lwokutaano lwa Wiiki eno ng’Obuganda bukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’ebitundu mu Lubiri e Mengo.
Bino birangiriddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde atongoza akakiiko akateesiteesi ak’emikolo gya Bulungibwansi ne Gavumenti ez’ebitundu akakulemberwa Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja. Mu ngeri yeemu Katikkiro alangiridde eSsaza Kyaddondo ng’eryasukkuluma ku malala mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa wamu n’okussaawo pulojekiti ez’enkulaakulana mu bitundu byabwe.
Katikkiro asabye abaami okukola Bulungibwansi akyuusa embeera z’Abantu naddala mu by’obulamu, mu byenjigiriza, n’ebyenkulaakulana.