Ssaabasajja Kabaka asiimye musajja we omumyuka asooka owa Ssebwana Dr. Stephen Grace Sseruyange olwokutandikawo essomero lyAbasawo eriyitibwa
🗳️ Ssaabasajja Kabaka asiimye musajja we omumyuka asooka owa Ssebwana Dr. Stephen Grace Sseruyange olw’okutandikawo essomero ly’Abasawo eriyitibwa International Paramedical and Nursing Schools Maya, n’okusiima erinnya ly’ekizimbe ekipya.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku matikkira g’ettendekero lino ag’omulundi ogw’okutaano.
Ssaabasajja agambye bwati; “Twategeezebwa nti watandikawo ettendekero eritendeka abavubuka baffe emirimu gy’obusawo n’okulabirira abalwadde.
Tusiima nnyo omulimu guno ogw’ettendo kubanga gutumbula obuyigirize bw’abavubuka ate nga bwegutaasa obulamu bw’abantu baffe abakyasomoozebwa endwadde eza buli kika.
Kituwadde essanyu okuwulira nti ettendekero lino lyayongeddeko ekizimbe ekipya ekiraga nti omulimu ogukwasizza maanyi era teri kuddirira.
N’olwekyo tusiimye ekizimbe kino kituumibwe erinnya, “Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II “. Tusaba Katonda bonna abanaakisomeramu babeere ba mugaso eri Buganda, Uganda ne Africa okutwalira awamu.”
🌐

