Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 631 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Ssaabasajja Kabaka asiimye Mesarch Ssemakula olw’okuyimba ennyimba ezibuulirira eggwanga.

June 15, 2019 · Mubiru Ali

Omutanda abadde ku Hotel Africana mu kivvulu kya Mesarch Ssemakula ekya *BWAGAMBA*, kyeyasiima okwetabamu.

Mu bubaka Beene bwatisse omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya Prof Twaha Kigongo Kaawaase, Omutanda asiimye Mesarch olw’okubeera omukkakamu, omuyiiya, omuwulize, wamu n’okulemerako newankubadde nga ayise mu kusomoozebwa kungi okusobola okubaako watuuse mu kisaawe ky’oluyimba.

Ssaabasajja Kabaka yatuuse ku Hotel Africana ku ssaawa bbiri zennyini era wano Mesarch Ssemakula weyatandikidde okusanyusa omugenyi we ow’enjawulo.

Nga ojjeko Mesarch, wabaddewo abayimbi abalala abasanyusiza Beene, omuli; Mathias Walukagga, Ronald Mayinja, David Lutalo, Haruna Mubiru, Rema Namakula, Dr. Hilderman, Bebe Cool, Pastor Wilson Bugembe, Catherine Kusasira, ne bakazannyirizi Madrat ne Chiko.

Mesarch akyuusizza ebyambalo eby’enjawulo wabula byonna bibadde bajjayo bulungi ennyambala y’omusajja omuganda aggumidde obulungi. Baminisita ba Kabaka nga bakulembeddwamu omumyuka wa Katikkiro asooka Prof Twaha Kigongo Kaawaase, bonna ekivvulu bakyetabyeko, Omulangira David Kintu Wasajja, ababaka ba Parliament nga bakulembeddwamu Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda Johnson Muyanja Ssenyonga, akakiiko ka Buganda twezimbe, n’Abakungu abalala bangi.

Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka bweyali ajaguza okuweza emyaka 64 egy’obulamubwe ku ssomero lya Ndejje Secondary School e Luwero. Bulemeezi, yasiima Mesarch Ssemakula era naamuwa engule olw’okuyimba ennyimba ezibuulirira era ezizimba eggwanga. Mesarch yali wamu n’abalala Beene beyasiima kwolwo omuli ne Dr. Gordon Wavamuno.

Mu luyimba lwa Mesarch “BWAGAMBA”, alaga amaanyi n’obuyinza bwa Katonda nti bwaba nga asazeewo okukola ekintu teri asobola kukiwakanya, era kino akyekuusa ku maanyi Ssaabasajja Kabaka gaalina eri Obuganda, nti bwakoona ku kintu nga ayita mu bubakabwe, olwo Abaganda bateekabuteesi mu nkola ekyo kyaba ayogeddeko awatali kukiwakanya.

Mesarch asinzidde mu kivvulu kino naawa ebirabo abantu abamukwatiddeko mu lugendo lwe olw’okuyimba nga mubaddemu n’aba Kayimbira Drammactors era omumyuka wa Katikkiro asooka Prof Twaha Kigongo Kaawaase yabibakwasizza. Ku ssaawa ttaano zennyini Omutanda asiimye naddayo mu Lubiri.