Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ssaabasajja Kabaka akubirizza abantu be okunyweza obumu

April 13, 2023 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza abantu be okunyweza obumu olwo basobole okuwangula mu buli kimu. Bino bibadde mu bubaka bwe ku mukolo okujaguliziddwa amazaalibwa ge mu Lubiri, e Mengo, n’akiggumiza nti okunyweza obumu gwe musingi ogunaatutuusa ku buwanguzi.
Beene abadde omusanyufu akubirizza abantube okwekuuma nga balamu, bajjumbire okwekebeza n’okwewala emize egitattana obulamu bwabwe. Ssaabasajja yeebazizza abakulembeze b’Obwakabaka olw’okulambika obulungi abantube, ne basobola okuwuliriza n’okussa mu nkola ebyo ebyettanirwa Obwakabaka, n’okunywerera ku mulamwa.